Bobi Wine Tujune Lyrics
Mukama leero nzize n’ennyiike gyoli
Nga nina ensonga zange
Era leero nina ebibuuzo bingi
Ebinnyiga mu mutima gwange
Tekitegeeza ku byonna by’okoze
Mukama nti ssisiima
Naye yeggwe gwe tuloopera
Alina obuyinza obusemba
One day, nali mu Ghetto ne bambuuza
Nti oba Mukama baamuwamba netutamanya?
Nti oba ye ye, akyafuga eggulu n’ensi?
Lwaki bye yalagira, abamu babissa wansi?
Abakola ebituufu be babonaabona
Ng’abakola ebikyamu be bababonyaabonya
Ne tubulwa oluusi anaabagambako
Kuba ne ba kabona bo oluusi babibeeramu
Ekyo kireetedde bangi okubuusaabuusa
N’okukkiriza kwabwe kukendedde
Balaba bakola bituufu, bayisibwa bubi
Ate bo abakola ebikyamu bateredde
Nkimanyi buli kiriwo kati kyabeerawo kko
Mu byawandiikibwa, era tubisomako
Nga bwe walaga amaanyi mu mirembe giri
Nsaba naffe otukozese ogalage
Mukama nsaba tujune
Tuzibule amaaso abantu balabe
Enjegere zaffe zikutuke
Tuwone okuba mu mikono gy’abalabe baffe
Mukama nsaba tujune
Otuwe amaanyi tuwaguze
Enjegere zaffe zikutuke
Totuleka kuba mu mikono gy’abalabe baffe
My lord, watusuubiza nti bwe tukwesiga
Mukama tuliba bagumu ng’olusozi lw’e Sayuuni
N’otusuubiza nti oliteekawo emmeeza
Mu maaso g’abalabe baffe n’obalabisa
Bwe baatukuba ku ttama erisooka
Mukama twassaawo n’eddala ne balisabula
Bwe twalondawo okukozesa eddembe
Ate bo baakozesa lyanyi era ne batucunya
Tubayisa bulungi batuyisa bubi
Ne be tulaze ekisa batusasuza bukyayi
Kye tuva tusaba otuyambe
Twerwaneko Katonda waffe
Balyoke balabe kye bayita
Amaanyi go Katonda waffe eh
Watugamba nti tubeere b’amazima
Ge galitufuula ab’eddembe
Era Mukama ne tukikola
Kati aboogera amazima wano
Beebatalina mirembe
Bangi battibwa dda
Naye Mukama nsaba tujune
Tuzibule amaaso abantu balabe
Enjegere zaffe zikutuke
Tuwone okuba mu mikono gy’abalabe baffe
Mukama nsaba tujune
Otuwe amaanyi tuwaguze
Enjegere zaffe zikutuke
Totulekaayo mu mikono gy’abalabe baffe
Mukama leero (leero)
Nzize n’ennyiike nnyingi
Nga nina ensonga zange
Era leero (leero)
Nina ebibuuzo bingi (mu mikono gy’abalabe baffe)
Ebinnyiga mu mutima gwange
Ate oba, nali mu Ghetto ne bambuuza
Nti oba Mukama baamuwamba netutamanya?
Nti oba ye ye, akyafuga eggulu n’ensi?
Lwaki bye yalagira abamu babissa wansi?
Kireetedde bangi okubuusaabuusa
Era n’okukkiriza kwabwe kukendedde
Balaba bakola bituufu, bayisibwa bubi
Ate bo abakola ebikyamu bateredde
Wagamba nti tubeere b’amazima
Ge galitufuula ab’eddembe
Ekyo Mukama ne tukikola
Kati aboogera amazima wano
Beebatalina mirembe
(Mu mikono gy’abalabe baffe)
Leave a Reply